TIGblogs TIG | TIGblogs GROUP TIGBLOGS LOGIN SIGNUP
ibrahim's Blog
ibrahim's Blog
Ab’oku Kaleerwe bookezza kawooteeri
Related to country: Uganda

Translations available in: English (original) | French | Spanish | Italian | German | Portuguese | Swedish | Russian | Dutch | Arabic

ABATUUZE b’oku Kaleerwe abaabadde baswakidde oluvannyuma lw’okulwanagana ne Poliisi n’amagye ku Lwokubiri olwalabye ng’abakuumaddembe baavuddewo ne balumba ne bookya ekibanda ky’emmere ekiriraanye kapollisi mu kitundu kino nga kigambibwa nti abapoliisi babadde batera okubeerawo era nga we balya.

Kawooteeri kano kaliraanye oluguudo lwa Northern Bypass era nnannyiniko ye Mohammed Kezaala akulira Lufula y’oku Kaleerwe.

Mu lutalo luno mwa f i i r i d d e m u owapoliisi abadde mu kutendekebwa Tom Ntanda wamu n’omwana William Byamukama 12 abadde asoma mu ssomero lya Child Care ku Kaleerwe mu kibiina ekyomukaaga. Bazadde ba Byamukama eggulo baanonye omulambo gwa mutabani waabwe e Mulago ne bagutwala mu maka gaabwe mu Kibe Zooni ku Kaleerwe.

Nnyina Gorret Nanyonga yagambye nti bagenda kumuziika leero e Fort Portal. Abatuuze abalala babiri baaweereddwa ebitanda mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’okulumizibwa mu kavuvungano kano.

Faruku Kasule yakubiddwa essassi ku mutwe ate Stephen Mukasa omuserikale wa poliisi n’akubibwa ekiyinja naye ekyamumenye Okugulu okwa ddyo nga bombi bapooca mu waadi 3C e Mulago.

Omubaka w’ekitundu mu Palamenti, Ssebuliba Mutumba eggulo yagenze okukubagiza bazadde ba Byamukama n’avumirira ekikolwa kya Poliisi n’amagye ekitalaga bukugu mu nkola ya mulimu gwabwe, n’asaba gavumenti eriyirire bazadde b’omwana eyattiddwa.

July 3, 2008 | 1:51 PM Comments  0 comments

Tags:
You must be logged in to add tags.


ibrahim's Profile

ibrahim's Friends


Latest Posts
New HIV treatment
Peace talks to remain...
Ab’oku Kaleerwe...
We must address female...
Doctors battle to save...

Monthly Archive
August 2007
September 2007
October 2007
November 2007
December 2007
February 2008
March 2008
June 2008
July 2008

Change Language


Tags Archive
children displaced education kenya refugeecamp refugees uganda

Filter By Type
Travel
Topics

Friends
kajumba daphine
maryjn


7818 views
Important Disclaimer